
Bisaso ng'ayogera n'abaamawulire
Bya GERALD KIKULWE
Oluvannyuma lwa Bisaso eyatendekako Proline Soccer Academy FC wakati wa 2011-14, okusuulawo Express FC mu liigi ya babinywera gy’abadde sizoni ewedde, azze mu kifo kya Mujib Kasule eyawanika ekifo ky’obutendesi bwa Proline omwezi oguwedde nga kati Bisaso waakukola omulimu guno ku ndagaano ya myaka ebiri.
Sizoni ewedde Proline FC yasalwako okuva mu Liigi ya babinywera n’eddayo mu Big League era olukiiko olwali luddukanya ttiimu eno lw’asattululwa nga kati Bisaso waakumyukibwa Ronald Kaweesa eyazze mu kifo kya Baker Mboowa olwo Swaib Ssebaggala atendeke ba Kippa.
Bisaso agamba nti tewali kinyuma nga mwana kuddayo waka okumala ebbanga era kino kimusanyusizza nnyo nga waakulwana okubbulula ttiimu eno ekomewo mu “Super”
Bisaso atendeseeko ttiimu okuli Express FC, Soana FC , Masavu FC,SC Villa Jogoo ne KJT FC.