TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Aba USPA Beegasse ku b'e Lugazi okulwanyisa obubenje ku nguudo

Aba USPA Beegasse ku b'e Lugazi okulwanyisa obubenje ku nguudo

Added 2nd September 2018

Aba USPA Beegasse ku b'e Lugazi okulwanyisa obubenje ku nguudo

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya USPA basanyudde abatuuze e Lugazi bwe basiize Zebra Crossing awasalirwa ab’ebigere mu kaweefube w’okulwanyisa obubenje gwe bamazeeko wiiki nnamba.

Kaweefube ono alondoola okulwanyisa obubenje kwe baatandikawo mu 2004 nga bajjukira bannabwe bana abaafiira e Lugazi mu 2001 mu kabenja akaafiiramu n’omutuuze mu kitundu.

Bannamawulire abaafa ye Kenneth Matovu, Leo Kabunga, Simon Peter Ekarot ne Francis Batte Junior.

Aba USPA bakolaganye n’ekitongole ekivunanyizibwa ku nguudo ekya UNRA okusiiga Zebra Crossing eno.

Ebotongole ebirala bye baakolaganye nabyo omwaka guno ye Standard Chartered Bank eyakoze ku kukung’nya omusaayi, Blood Bank e Nakasero, City Tyres, KCCA FC, Christ The King Church, n’amatendekero okuli Buganda Royal Institute of Business and Technical Education –Mengo, Makerere University, IUIU ne bannakampaka abaawaddeyo okusaayi ku Mukwano Arcade.

Olwokulambika obulungi entambula z’okuluguudo aba USPA wamu ne Uganda Cycling Federation bategese empaka z’obugaali obwetoolodde mu bitundu ebiriraanye akabuga Lugazi.

“Mwebale kutusiigira Zebra Crossing wabula aba UNRA basaanye okuzzaawo obugulumu obwali mu kabuga kano mmotoka zisobole okusala ku sipiidi,” omu ku batuuze Ruth Nansumba bw’ategeezezza.

Omulamwa gwa USPA omwaka guno guli nti “Vva ku ssimu ng’okozesa oluguudo ne bw’oba ku bigere,” okusinziira ku Pulezisenti wa USPA Sabiiti Muwanga.

Eccupa z’omusaayi 250 ze zikung’anyiziddwa mu wiiki yonna mu kaweefube wa USPA ne Standard Chartered Bank ne Nakawero Blood Bank.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...