TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Farouk Miya yeegasse mu kutendeka kwa Cranes

Farouk Miya yeegasse mu kutendeka kwa Cranes

Added 5th September 2018

Farouk Miya ne Kizito Luwagga beegasse ku ttiimu y'eggwanga eya Uganda Cranes mu kutendekebwa e Namboole

 Okuva ku kkono; Farouk Miya, Kizito Luwagga ne Moses Opondo mu kutendekebwa e Namboole

Okuva ku kkono; Farouk Miya, Kizito Luwagga ne Moses Opondo mu kutendekebwa e Namboole

Lwamukaaga mu z’Afrika

Uganda - Tanzania

Enkambi ya Uganda Cranes yeeyongeddemu ebbugumu abazannyi okuli; Farouk Miya, Kizito Luwagga, Moses Opondo ne Yunus Sentamu,  bwe bagyegasseeko mu kutendekebwa e Namboole ku Lwokusatu.

Cranes eri mu kwetegekera Taifa Stars ey’e Tanzania mu z'okusunsulamu abalyetaba mu mpaka z’Afrika ezaakamalirizo (AFCON) ezigenda okubeera e Cameroon omwaka okujja. Omupiira guno gwa ku Lwamukaaga e Namboole.

Omutendesi wa Cranes Sebastien Desabre (owookubiri ku ddyo) ng'ayogera n'abazannyi Khalid Aucho (asooka ku kkono) Moses Opondo ne Hassan Wasswa (ku ddyo) mu kutendekebwa e Namboole ku Lwokusatu

 

“ Mpulira bulungi okuba nga nsobodde okutendekebwa ne ttiimu. Bannange bonna ndaba bali mu mbeea nnungi era ssinga Bannayuganda bajja ne batuwagira nga bulijjo, tujja kusobola okuwangula Tanzania,” Miya bwe yagambye

Mu mupiira Cranes gwe yasooka okuzannya, yawangula Cape Varde (1-0), era mu kiseera kino y’ekulembedde ekibinja L n'obubonero 3, ng'eddirirwa Tanzania ne Lesotho abalina akamu, sso nga Cape Verde terinaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu