TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Minisita Bakkabulindi asabye abeebikonde okutabagana

Minisita Bakkabulindi asabye abeebikonde okutabagana

Added 10th September 2018

Minisita w'Emizannyo,Charles Bakkabulindi asabye abaddukanya ebikonde mu ggwanga okutabagana basobole okubitwala mu maaso.

 Maj Gen Elwelu (ku kkono), Hounch, Bakkabulindi ne Uhuru

Maj Gen Elwelu (ku kkono), Hounch, Bakkabulindi ne Uhuru

 

MINISITA w’Emizannyo Charles Bakkabulindi asabye abakulembeze b’ebikonde mu ggwanga okukomya entalo ezisensedde omuzannyo kubanga ziguviiriddeko okusereba. Yabadde mu ttabamiruka w’ekibiina kya ‘Africa Boxing Union Convetion’ eyategekeddwa  Uganda ku Hotel Africana.

Minisita yawadde Salim Uhuru akulembera ekibiina kya Uganda Professional Boxing Council (UPBC) ne Moses Muhangi owa Uganda Boxing Federation ‘UBF’ ekiddukannya ebikonde by’abakyakayiga, balwane bwezizingirire bayimuse ebikonde, bisobole okudda ku maapu nga bwe gwali mu myaka egyayita.

“Kya nnaku nti ebikonde kati tubimanyi ng’omuzannyo ogujjuddemu okusika omuguwa kuba  tuwulira ababitwala mu kkooti, ekintu ekikyamu. Nsaba mmwe ababikulembera okulwana n’amaanyi entalo zino muzituule ku nfete,” Bakkabulindi bwe yagambye.

Pulezidenti w’ekibiina kya ABU ekitwala ebikonde mu Afrika, Houcine Hounchi yasabye amawanga 11 egeetabye mu ttabamiruka ono okukolera awamu okulaba nga ebikonde by’eyongera amaanyi mu Afrika.

Maj.Gen Peter Elwelu eyakiiridde ssaabaddumizi w’eggye lya Uganda, David Muhoozi yasabye abakulembeze b’ebikonde okukola buli kisoboka okuddamu okubyagaaza abawagizi.

(Fred Kisekka ne Silvano Kibuuka)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...