TOP

KCCA FC ekulembedde eza Phillip Omondi

Added 15th September 2018

KCCA FC esuze waggulu ku kimeeza mu mpaka za KCCA Phillip Omondi Invitational Tournament ezeetabiddwamu ttiimu nnya nga zitandise leero ku kisaawe kya Stat Times e Lugogo.

 Allan Okello (wakati ) owa KCCA  ng'ayita ku Fahad Kawooka owa Wakiso Kamuli Park. KCCA ewangudde 2-0 Sept 14 2018. (ekif:Silvano Kibuuka)

Allan Okello (wakati ) owa KCCA ng'ayita ku Fahad Kawooka owa Wakiso Kamuli Park. KCCA ewangudde 2-0 Sept 14 2018. (ekif:Silvano Kibuuka)

BYA SILVANO KIBUUKA

KCCA Phillip Omondi Invitational Pre Season Tournament:

Proline FC 1 – 0 Nyamityobola

KCCA FC 2 – 0 Wakiso Kamuli Park

Patrick Henry Kaddu y’ateebedde KCCA ggoolo bbiri ng’emegga Wakiso Kamuli Park era ng’okusinziira ku mateeka g’empaka ekulembedde n’obubonero butaano.

Proline esoose mu nsiike ne Nyamityobola erina obubonero buna ku buwanguzi buno.

Amateeka g’empaka gataddewo akabonero kamu ku buli ggoolo eteebwa okwongera omuzinzi mu kuvuganya okuteeba era nga y’ensonga lwaki KCCA esize ku ntikko.

Enkya (Lwamukaaga) emipiira giddamu era ku kisaawe kya kimu nga Proline ekwatagana ne Wakiso Kamuli Park ate akawungeezi KCCA ekwatagane ne Nyamityobola bwe bali mu liigi ya Star Times.

Ng’ojjeeko okujjukira omugenzi Phillip Omondi, emipiira gigendereddwa okuwa kiraabu okusoomoozebwa n’okwetegekera liigi etandika nga September 28.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...