TOP

Crested Cranes eri ku semi mu za COSAFA

Added 17th September 2018

Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira ey'abakazi yeesozze semi z'empaka za COSAFA, era erinze South Afrika

 Abazannyi ba Crested Cranes nga bajaganyiza ggoolo

Abazannyi ba Crested Cranes nga bajaganyiza ggoolo

Mu za COSAFA

Zimbabwe 1-2 Uganda

Namibia 4-1 Swaziland

CRESTED Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi yeesoze semi z’empaka z'amawanga g’obukiikaddyo bwa Afrika (COSAFA).Yakubye  Zimbabwe ggoolo 2-1 mu gwasembyeyo mu kibinja.

Uganda, eyeetaba yazze mu mupiira guno nga yeetaaga buwanguzi  eweze obubonero 7 ekulembere ekibinja A, sso nga Zimbabwe, eyabadde n’obubonero 6 amaliri gaabadde gagitwala  ku ntikko.

Empaka zino zeetabwamu ttiimu 12 ezaayawulwamu ebibinja bisatu (3), nga ttiimu ezikulembera zaakwegattibwako emu eneesinga okukola obulungi mu kyokubiri, zizannye semi.

Ggoolo za Crested Cranes zaateebeddwa Juliet Nalukenge ne kapiteeni Tracy Akiror ate eya  Zimbabwe n’eteebwa Rutendo Makore.

Uganda yaakuzannya abategesi aba South Afrika eyayiseemu nga tewanguddwaamu, ku semi  egenda okuzannyibwa  ku Lwokuna.

Bulega yagambye nti tebatidde South Afrika era talina puleesa yonna kubanga beetaba mu mpaka zino okuwa ttiimu ye, ejjuddemu abaana abato, obumanyirivu n’okwongera okwekkiririzaamu,  era babituukirizza. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....