TOP

Ab'amasaza beegaanyi okulera ttiimu

Added 20th September 2018

Abaddukanya amasaza beegaanyi ebigambibwa nti balina ttiimu ze balera nga baagala zituuke ku fayinolo

Ssejjengo owookubiri (ku ddyo) ng'aliko byannyonnyola. Yabadde n’abakungu b'akakiiko abalala okuli; Timothy Magambo (ku kkono), Farida Bongoley, Francis Kitaka ne Francis Mugerwa.

Ssejjengo owookubiri (ku ddyo) ng'aliko byannyonnyola. Yabadde n’abakungu b'akakiiko abalala okuli; Timothy Magambo (ku kkono), Farida Bongoley, Francis Kitaka ne Francis Mugerwa.

Ssande mu semi z’Amasaza

Busujju - Buddu e Kakindu,10:00

Ssingo- Buwekula e Ssingo,10:00

ABAKUNGU b’olukiiko oluddukanya empaka z’Amasaza beegaanyi ebigambibwa nti  balina ttiimu ze balera nga baagala zituuke ku fayinolo.

Bano baakulembeddwa Hajji Sulaiman Ssejjengo ssentebe w’akakiiko k’Amasaza ne bategeeza nti endwooza eno nkyamu kuba buli ttiimu eyitira mu mitendera egyassibwawo nga zivuganya okuviira ddala mu bibinja okutuuka ku fayinolo.

“ Ssinga tubadde tulera ttiimu, essaza lyange erya Busiro lyandibadde lyatwala dda ekikopo kuba ndikyagaliza naye sirina busobozi buliyamba nga teriyise mu mitendera,” Ssejjenjo bwe yategeezezza mu lukung’aana mwe baasisinkanidde ttiimu ennya ezigenda okuzannya semi ku Ssande.

Ku ttiimu zino kuliko; Busujju, Ssingo, Buweekula e Buddu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...