TOP
  • Home
  • Rally
  • Mutabani wa Michael Schumacher aba Ferrari bamuperereza

Mutabani wa Michael Schumacher aba Ferrari bamuperereza

Added 20th September 2018

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10

 Mick Schumacher mutabani wa Michael Schumacher eyali avuga obumotoka bwa Formula One..

Mick Schumacher mutabani wa Michael Schumacher eyali avuga obumotoka bwa Formula One..

TTIIMu ya Ferrari ey’obumotoka bwa Formula One egambye nti oluggi luggule eri mutabani wa Michael Schumacher, Mick Schumacher okubeegattako atandike okubavugira mu mpaka zino.

Mick, mu kiseera kino, avugira mu mpaka eza Formula Three era yaakawangula empaka za mirundi mukaaga mukaaga ku 10 ezaakavugibwa.

Michael Schumacher, eyali kafulu mu kuvuga obumotoka buno, yawangula engule ya Formula One enfunda musanvu kyokka nga ttaano ku zino yaziwangulira mu kkampuni ya Ferrari.

Mu kiseera kino, Michael Schumacher ali ku ndiri oluvannyuma lw’okukuba omutwe ku lwazi bwe yali mu luwummula ne mukyala we emyaka ena egiyise.

Empaka za Formula One ziddamu nga September 30 n’empaka za Russian Grand Prix.

Lewis Hamilton akulembedde kalenda mu kiseera kino ajja kuba agwisa bwenyi ne Sebastain Vettel ali mu kyokubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono