TOP
  • Home
  • Mupiira
  • KCCA FC ewangudde ekya Super Cup eky'omulundi ogwokusatu

KCCA FC ewangudde ekya Super Cup eky'omulundi ogwokusatu

Added 23rd September 2018

KCCA FC etutte ekya FUFA Super Cup omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa n’ekitwalira ddala mu kabada era nga tewali ttiimu ndala yali ekitudde bukya kitandikibwawo mu 2018.

KCCA ETUTTE EKYA SUPER CUP.

KCCA FC 4 (0) – 2 (0) Vipers SC

Wadde ng’eddakiika 90 zaaweddeko nga tewali alengedde katimbe ka munne, omukwasi wa KCCA FC, Charles Lukwago era abadde kapiteeni alaze obwassiniya ng’akutteko peneti ya Moses Waiswa ate Aggrey Madoi n’agikuba ebweru.

Tito Okello eyagobwa mu KCCA n’agenda mu Vipers wamu ne Godfrey Wasswa be baateebedde Vipers.

Eza KCCA FC zaateebeddwa Mustafa Kizza, Hassan Musana, Benard Muwanga ne Julius Poloto.

Ye omukwasi wa ggoolo ya Vipers Fabien Mutombora enzaalwa ya Burundi eyakansiddwa okuva mu Express FC teyakutteyo peneti n’emu abawagizi ne bamukonjera ku mupiira gwe ogusoose.

KCCA eraze eryanyi nga yeetegekera sizoni ya Super League 2018/19 bw’etutte ebikopo byonna ebitegekeddwa FUFA okuli ekya Super 8 ne Super Cup nga bwe yatadde n’ekya Phillip Omondi Invitational Cup kye yategese.

Omutendesi wa KCCA FC Mike Mutebi ategeezezza nti yabadde agezesa basambi be abato basobole okutandika liigi nga balina obumalirivu n’okwekkiririzaamu.

Ttiimu zikyalinda nsengeka ya nzannya za Super League okuva mu FUFA ne FSL abagiddukanya ng’esuubirwa okutandika nga September 28.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu