TOP

Ebya Ramsey tebinnatereera

Added 27th September 2018

Omuwuwuttanyi Aaron Ramsey endagaano gy’alina ne Arsenal, eggwaako sizoni eno. Agamba nti yandyagadde kusigala nga gy'azannyira.

Ramsey

Ramsey

WADDE nga ye akyayagala okusambira Arsenal, abakungu baayo tebannasalawo ku bigenda kuteekebwa mu ndagaano ye empya gye balina kumuwa.


Ono ye muwuwuttanyi Aaron Ramsey ng’endagaano gy’alina ne Arsenal, eggwaako sizoni eno. Ramsey agamba nti yandyagadde okusigala ng’azannyira Arsenal, wabula tewannabaawo ssuubi lyonna liraga nti abakungu banaamuwa endagaano empya. Kino kitadde ttiimu nga Chelsea ne Man City ku bwerinde nti singa tafuna ndagaano ndala, zaakumwetwalira.


Kyokka omutendesi we, Unai Emery amukuutira kussa ssira ku mipiira gy’azannya kuba wa mugaso nnyo mu ttiimu ng’era emipiira 6 egisembyeyo egya Premier gyonna agizannye.


Embeera Ramsey gyalimu yeefaananyirizaako eya Mesut Ozil eyaweebwa endagaano ku ssaawa esembayo nga gy’alina eweddeko wamu ne Alexis Sanchez nga ye ono baasalawo kumutunda. Kigambibwa nti Arsenal yagaanako obukadde bwa pawundi 50, obwali bugiweebwa mu katale k’abazannyi akawedde mu muzannyi ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...