TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Mourinho asonze ku b'okusikira Pogba ku kikomo

Mourinho asonze ku b'okusikira Pogba ku kikomo

Added 29th September 2018

Mourinho ne Pogba tebeerabawo ennaku zino nga Mourinho alumiriza Pogba obutaba na mutima gwa ttiimu ekiviirako ManU okukola obubi.

 Pogba ne Mourinho

Pogba ne Mourinho

OLUVANNYUMA Jose Mourinho okutegeeza nga bw’atagenda kuddamu kuwa Pual Pogba ekikomo ku bumyuka bwakapiteeni bwa ManU, ayogedde abazannyi abanaakyambalanga singa Antonio Valencia anaaba tali mu kisaawe.


Mourinho ne Pogba tebeerabawo ennaku zino nga Mourinho alumiriza Pogba obutaba na mutima gwa ttiimu ekiviirako ttiimu okukola obubi. Wiiki eno, Pogba yavuddeyo n’addamu okutegeeza nga bw’ayagala okugenda mu Barcelona era Mourinho n’agamba nti takyaddamu kumuwa kikomo kuba akitegedde nti kati omutima gwe teguli mu ManU.


Mourinho agamba nti newankubadde Pogba abadde ayambala ekikomo kino, naye abazannyi abaalina okukyambala kwe kuli; David de Gea, Ashley Young ne Chris Smalling lwakuba oluusi abadde akiwa Pogba ng’alowooza nga bwali omuto okusinziira ku baali basobola okukyambala, ajja kusobola okukumaakuma banne obulungi kyokka alemeddwa okukikola.


Leero ku Lwomukaaga ku ssaawa 8:30, ManU ekyazizza West Ham mu Premier era Mourinho agamba nti asuubira okuwangula omupiira guno kuba ayagala kuwa bawagizi ba ttiimu eno ku ssanyu oluvannyuma lw’okuwandulwamu Derby County mu Carabao Cup.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...