
Aaron Ramsey, omuwuwuttanyi wa Arsenal ayinza okwegatta ku Liverpool
Liverpool eyingidde olwokaano lw’okukansa omuwuwuttanyi wa Arsenal, Aaron Ramsey mu katale ka January.
Kigambibwa nti Arsenal ne Ramsey baalemaganye ku by’endagaano empya era essaawa yonna yandyegatta ku ttiimu endala.
Endagaano y’omuzannyi ono, akyasinze okulwa mu Arsenal ku bazannyi abaliwo, eggwaako ku nkomerero ya sizoni eno era agava mu nkambi ye gagamba nti ajja kuba musanyufu nnyo singa aneegatta ku Jurgen Klopp.
Waliwo ebigambibwa nti mu katale k’abazannyi akayise, Klopp yagezaako okukansa Ramsey, enzaalwa ya Wales kyokka ne bigaana era singa wanaabaao omukisa mu katale ka January, waakuddamu okugezaako okumukansa.
ManU ne Juventus nazo zaagala omuzannyi y’omu era zaakugezaako okumukansa mu katale ka January oba okumulindanga sizoni eweddeko zimutwale ku bwereere.
Ramsey, yazannye omupiira gwa Watford ku Lwomukaaga kyokka n’aggyibwayo oluvannyuma lw’omutindo gwe okugaana okummuka era waliwo amawulire agaategeezezza nti yagaanyi okukwata Emery mu ngalo ng’amukozeeko sabusityuti.
Emery nga yaakajja mu Arsenal, yategeeza nti Ramsey ye muzannyi gw’ayagala okuzimbirako ttiimu kyokka ebintu byakyuka era Emery agamba nti abazannyi bonna mu ttiimu ye benkana omugaso.
Obuwanguzi ku Watford obwa (2-0), bwatutte Arsenal mu kyokutaano ku bubonero 15 mu mipiira musanvu.