
Ssemuko (ku kkono) ne Kiyaga (amuddiridde) nga bakwasa aba Amazon FC ekikopo
Bya JOSEPH ZZIWA
Juba Boys FC 0-1 Amazon FC
AMAZON FC ewangudde empaka za Ssemuko Cup, bwe yakubye Juba Boys ggoolo 1-0.
Empaka zino zeetabwamu ebyalo ebiri ku kyalo ky'e Masajja nga zitegekebwa buli mwaka, era nga zivujjirirwa Kennedy Ssemuko, kkansala w'omuluka gwa Kikajjo, n’ekigendererwa ky’okusaggula ebitone wamu n’okuleetawo obumu. Guno mulundi gwakubiri nga zitegekebwa. Ezasooka zaawangulwa Kikajjo FC.
Ssemukoyeebaazizza ttiimu zonna ezeetabye mu mpaka zino n'asuubiza n'okutandika empaka z'okubaka, n’asaba ssentebe wa ggombolola y’e Masajja John Baptist Kiyaga okubategekera empaka ezigatta Masajja yenna buli omu afune omukisa okuvuganya.
Kiyaga yeebazizza Ssemuko olw’okugatta abatuuze ng’ayirita mu mizannyo.
Amazon FC yaweereddwa ekikopo, emidaali n'emijoozi, Juba Boys n’efuna emidaali n'emijoozi ate ttiimu endala ezeetabye mu mpaka ne zifuna satifikeeti buli emu.