TOP
  • Home
  • Mupiira
  • ManU eyagala Pocthettino asikire Mourinho

ManU eyagala Pocthettino asikire Mourinho

Added 4th October 2018

Pochettino alina obumanyirivu mu Premier okusinga Zidane.

 Jose Mourinho atendeka ManU.

Jose Mourinho atendeka ManU.

ABAKUNGU ba ManU basonze ku Mauricio Pochettino owa Spurs okusikira Jose Mourinho ku butendesi bwa ttiimu eyo.

Omutindo gwa ManU omubi n’okwerumaaluma okuli mu ttiimu kwe kuvuddeko enkambi yaabwe okutaaguka era abakulira ttiimu eno wadde nga tebannavaayo kulaga nti bagenda kugoba Mourinho, ensonda zigamba nti singa embeera eneeyongera okubeera embi, baakuwalirizibwa okumukwata ku nkoona.

Pochettino omutendesi wa Spurs ayinza okusikira Mourinho.

 

Wabaddewo ebigambibwa nti Zinedine Zidane eyali omutendesi wa Real y’ayinza okusikira Mourinho kyokka waliwo amawulire ababisambazze nga gagamba nti baagala Pochettino alina obumanyirivu mu Premier.

Kyategeezeddwa nti wadde nga Zidane alina obumanyirivu mu Champions League, ManU eyagala kusooka kwetereeza mu Premier, gy’emaze emyaka etaano nga tewangula olwo esooke ebakane n’eddimu ly’okwetereeza mu Bulaaya.

Spurs yandigaana okuta Pochettino mu sizoni wakati era wano ManU w’eyagalira okulinda omutendesi ono bamukanse nga sizoni eweddeko.

Mourinho, alina okwetereeza mu mipiira egiddako, oluvannyuma lw’okumala emipiira ena egy’omuddiring’anwa nga tawangula sso nga n’awaka ku Old Trafford, baakawangulirayo omupiira gumu gwokka.

Zidane omu ku basongeddwaamu olunwe okusikira Mourinho.

 

ManU ya 10 mu Premier ku bubonero 10 nga yasembye kuwangulwa West Ham ggoolo 3-1 wiikendi ewedde ekyatabudde abawagizi ne basaba Mourinho abaviire.

Singa Mourinho agobwa sizoni eno, ejja kuba ttiimu yaakusatu mw’agobedde mu sizoni eyookusatu ng’ezaasooka kuliko; Chelsea wakati wa (2004-2007), Real (2010-2013) sso nga mu Inter ne Chelsea ekisanja ekyokubiri, teyaweza sizoni ssatu ng’azitendeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....