TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Arsenal ne Spurs ziswamye Bailly owa ManU

Arsenal ne Spurs ziswamye Bailly owa ManU

Added 11th October 2018

Omuzannyi ono baamugula mu Villarreal eya Spain mu 2016.

 Bailly ng'asitudde ekikopo kya Carabao Cup kye baawangula mu 2016.

Bailly ng'asitudde ekikopo kya Carabao Cup kye baawangula mu 2016.

ARSENAL ne Spurs ziswamye omuzibizi wa ManU, Eric Bailly agambibwa nti waakwabulira ttiimu ye ku nkomerero ya sizoni eno.

Omuzannyi ono, takyakolagana bulungi n’omutendesi we Jose Mourinho era emipiira egisinga agitandikira ku katebe oba obutazannyira ddala.

Nga bawangula Newcastle ggoolo 3-2 wiikendi ewedde, Bailly yaguzannyeeko eddakiika 18 ezaasoose Mourinho n’amuggyamu oluvannyuma lwa Newcastle okubateeba ggoolo bbiri mu ddakiika 10.

Arsenal eri ku muyiggo gwa muzibizi anaggumiza ekisenge kyayo era omutendesi Unai Emery agamba nti alina okugulayo omuzibizi mu katale ka January.

Mu ngeri y’emu, Spurs nayo eyigga muzannyi anaggumiza ekisenge kyayo era omutendesi Mauricio Pochettino agamba nti alina okumufuna mu January.

Omuzibizi wa Spurs, Toby Alderweireld akyagaanyi okussa omukono ku ndagaano empya era kigambibwa nti essaawa yonna yandyegatta ku ttiimu endala.

Bailly wa myaka 24 era ekisinga okumuyaayaanya mu ttiimu ez’enjawulo kwe kuba nti akyali muto era Emery ne Pochettino balina essuubi nti basobola okumuzza ku maapu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...