TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ramsey waakumalako endagaano ye mu Arsenal

Ramsey waakumalako endagaano ye mu Arsenal

Added 12th October 2018

Nali mwetegefu okusigala nga n'endagaano naatera okussaako omukono kyokka ebintu ne byekyusa.

 Ramsey asuubirwa okwabulira Arsenal nga sizoni eweddeko.

Ramsey asuubirwa okwabulira Arsenal nga sizoni eweddeko.

OMUWUWUTTANYI wa Arsenal, Aaron Ramsey agambye nti waakumalako endagaano ye sizoni eno kimusobozese okugendera obwereere.

Ramsey, omuzannyi akyasinze okulwa mu ttiimu eno mu kaseera kano, enteeseganya ze yalimu n’abakungu ba Arsenal ku by’endagaano empya zaagwa butaka era ne kikakasibwa nti waakwabulira Arsenal.

Ramsey, Wenger gwe yagula mu Cardiff mu 2008, asuubirwa okwegatta ku Liverpool, ManU oba Juventus sso nga ne Chelsea nayo emutunuulidde.

Omutendesi wa Arsenal, Unai Emery ennaku zino takyayagala kuwa Ramsey mupiira era ku gwa Fulham, yava ku katebe, ekyayongedde okukakasa okugenda kwe.

Ramsey yategeezezza abaamawulire nti si waakukaka kugenda mu katale ka January era waakulinda endagaano ye eggweeko.

Kigambibwa nti Arsenal yali emuwadde endagaano ya 250000 buli wiiki kyokka ne balemwa okukkaanya waakugenda.

Arsenal yaakazannya emipiira 9 nga tekubiddwaamu nga kuno kuliko egya Premier mukaaga egy’omuddiring’anwa era mu kiseera kino eri mu kyakuna ku bubonero 18.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...