TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cape Verde ekubye Tanzania n'esanga Cranes

Cape Verde ekubye Tanzania n'esanga Cranes

Added 13th October 2018

Uganda ezannya Lesotho leero ku Lwomukaaga nga yeetaaga buwanguzi yeetakkuluze ku Cape Varde bwe beenkanya obubonero.

 Ttiimu ya Uganda Cranes eyatandika ku Tanzania

Ttiimu ya Uganda Cranes eyatandika ku Tanzania

OMWAKA oguwedde, Uganda Cranes yakyalira Cape Verde mu mupiira gwayo ogwasooka mu mpaka z'okusunsulamu abalizannya empaka z'Afrika  era Uganda Cranes yawangula ne ggoolo 1-o n'efuna obubonero 3 obukyagiyambye okwekuumira ku ntikko y'ekibinja.

Wabula mu mupiira Uganda gwe yazzaako ng'ezannya Tanzania e Namboole, yalemwa okufuna obuwanguzi bwe gwaggweera mu maliri aga 0-0. Leero ku Lwomukaaga Uganda eri mu nsiike mu mpaka ze zimu ng'ekyazizza Lesotho nga yeetaaga buwanguzi okuba n'emikisa egisagala ku ntikko.

Ensiike eno w'etuukidde nga Cape Verde ekuba bulatti oluvannyuma lw'okuwuttula Tanzania (3-0) mu mupiira ogwazannyiddwa ku Lwokutaano n'eweza obubonero 4 ng'ebwenkanya ne Uganda wadde Uganda ekyali ku mipiira 2.

Uganda eneeba edding'anye ne Lesotho ku Lwokubiri nga ne Cape Verde ekyalidde Tanzania mu gw'okudding'ana mu mpaka ze zimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olivia Nakyeyune (ku kkono), maama wa Bogere, Enabu, Kiplimo ne Dr. Rukare.

Muve ku masanyu mukuze ttal...

SSENTEBE w'akakiiko ka NCS, akatwala emizannyo mu ggwanga, Dr. Donald Rukare, akuutidde bannabyamizannyo okulemera...

Abazannyi ba KCCA (ku kkono) mu mupiira gw'omukwano ne ttiimu y'eggwanga eya U17. KCCA yawangudde (5-1).

Bright Stars ne KCCA ziggud...

Bright Stars - KCCA e Kavumba 10:00 ENNYONTA abawagizi ba liigi ya Uganda gye babadde nayo eggwaawo leero, era...

Decolas Kiiza, amyuka akulira emirimu mu FUFA, ng'alambuza abaakakiiko k'Amasaza. Wakati ye Ssejjengo ne Ssekabembe (amuddiridde mu ssuuti).

Ab'Amasaza balabuddwa

ABAKAKIIKO akategeka empaka z'Amasaza balabudde okugoba abazannyi n'abakungu ba ttiimu abanaatoloka mu nkambi awagenda...

Abantu nga badduka okulaba ku Bobi Wine.

Abantu b'e Iganga beeyiye k...

Bobi ng'azina n'abawagizi be. Yali Ggulu gye buvuddeko. Abantu mu bitundu by'e Iganga beeyiye ku nguudo bwe bawulidde...

Wessaali nga yaakamala okugattibwa ne kabiite we Nambi. Ku kkono ye Frank Walusimbi omusomi w'amawulire ku NTV.

Owa Bukedde awasizza mu sit...

Semei Wessaali omumyuka w'atuukirwako amawulire mu Bukedde olupapula akubye embagaa kabiite we Agnes Nambi. ...