TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Usain Bolt ateebye 2 ku mupiira gwe ogusooka

Usain Bolt ateebye 2 ku mupiira gwe ogusooka

Added 13th October 2018

Bolt, yava mu misinde gye yamenyera likodi eziwera ku ddaala ly'ensi yonna nga kati azannya mupiira.

Usain Bolt

Usain Bolt

USAIN Bolt eyali kufulu mu kudduka ekikumu, ateebye ggoolo 2 mu mupiira gwe ogusooka ng’omusambi.


Bolt, eyeekolera erinnya mu kudduka emisinde naddala egya 100 ne 200 era n’amenya likodi eziwera, yawummula emisinde n’ategeeza nga bw’agenda okutandika okuzannya omupiira era alina ekirooto eky’okuzannyirako ku ManU, ttiimu gy’awagira.


Ng’ekirooto kye eky’okwegatta ku ManU tekinnatuukirira, ttiimu ya Central Coast Mariners eya Australia ye yasoose okumuwa omukisa okutendekebwa nabo.

Ku myaka 32, bwe yafunye omukisa oguzannyira ku ttiimu eno bwe yabadde ettunka ne Macarthur South West mu gw’omukwano, yateebyeko ggoolo 2 ku ezo 4 ze baagikubye.


Nga bwe yateranga okujaganya ng’awangudde emidaali egy’enjawulo mu misinde, era bwe yakozenga ng’ateebye ggoolo.

Agamba nti; “Ndi musanyufu olw’okulaga ensi nti nnina ekitone mu mupiira era nkyagenda mu maaso okulaga obukodyo bulijjo abawagizi bange bwe basubwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...