TOP

Express efunye wiini esooka

Added 16th October 2018

Express, efunye obuwanguzi obusooka bw'ekubye Police FC ku ggoolo 3-2.

 Mike Birungi owa Express (ku ddyo) ng'ayita ku Samuel Kayongo owa Police. Ekif: Ismail Mulangwa

Mike Birungi owa Express (ku ddyo) ng'ayita ku Samuel Kayongo owa Police. Ekif: Ismail Mulangwa

Mu liigi ya Uganda:
Police 1-3 Express
Tooro 1-2 Kirinya Jinja
BUL FC 3-0 Paidha

EXPRESS, efunye obuwanguzi bwayo obusooka mu liigi ya StarTimes Uganda Premier League.


Obuwanguzi buno, ebufunye ku Police FC, gy’ekyalidde akawungeezi ka leero ku Lwokubiri mu kisaawe e Lugogo. Ggoolo za Express ziteebeddwa; Tony Odur (ddakiika ya 9), Ibrahim Kayiwa (ddakiika ya 35) ne Micheal Birungi (ddakiika ya 89) ate eya Police, yabadde ya kyeteeba nga Arthur Kiggundu owa Express ye yeetebye mu ddakiika eya 53.


Mu mipiira 3 egyakazannyibwa sizoni eno, Express ebadde tennawangulamu n’ogumu era obuwanguzi buno bwagiyambye okugenda mu kifo ekyomunaana n’obubonero 4 ate nga Police, mu mipiira 3 terinaamu buwanguzi bwonna era y’ekoobedde ku ttebo nga terinaayo kabonero konna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...