
Ronald Ssebuguzi mu mpaka ezimu
NG'ABAVUZI beetegekera empaka za mmotoka eziggalawo kalenda y'omwaka guno, nnantameggwa wa 2006, 2009 ne 2014, Ronald Ssebuguzi, agiddwa ku ntikko y'abavuganya ku ngule eno.
Ssebuguzi abadde akulembedde n'obubonero 340, wabula ekibiina ekitwala omuzannyo gwa mmotoka z'empaka mu ggwanga 'The Federation of Motorsports clubs of Uganda' (FMU), kyatudde ne kisalawo okuggya obubonero bw'empaka za Pearl of Africa Rally, ku bavuzi abaali batabugwanidde.
Christakis Fitidis, nnantameggwa w’omwaka oguwedde, ye yawandika ng'asaba obubonero obwagabwa mu mpaka ezo ezaaliwo mu June, bwekeneenyezebwe kuba abavuzi abamu baali bavugira mu kiraasi etabufuna (Group S). Mu mpaka zino, abavuzi baalina okukozesa ttanka empya ekika kya 'FT3 safety fuel tanks' ezaayisibwa ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu nsi yonna (FIA).
Bangi ku Bannayuganda tebaalina ttanka zino olw'obuseere kwe zaali n'ebbanga ettono eryaliwo wakati w'empaka, n'olunaku ekiragiro kwe kyayisibwa FIA. Abavuzi abamu bwe batyo baateekebwa mu kiraasi 'S', nga muno baalina okusalwako ku bubonero bwe baali bakung'anyinzza.
Pulezidenti wa FMU, Dusman Okee, yagambye nti baabadde balina okussa mu nkola akawayiro 7.1.1 1 akafuga okuvuganya ku ngule y'eggwanga, nga baggya obubonero ku bavuzi abaabade tababugwaanira.
Omugatte abavuzi 16, be baakoseddwa ensalawo eno.
Kati Jas Mangat y’akulembedde engule y’eggwanga, kyokka Ssebuguzi awera kuwangula mpaka ezisembayo ezigenda okubeera Mbale wiikendi eno, alabe ng’engule agiwangula.