
Express 1-1 Vipers
Maroons2-1 Onduparaka
Paidha 0-2 Mbarara City
Police 2-1 Tooro United
ABAWAGIZI ba Express kata bafe obusungu, Tito Okello bwe yateebedde Vipers ggoolo ey'ekyenkanyi ng'ebula eddakiika 7 zokka, omupiira guggwe.
Ttiimu zino zattunse eggulo mu StarTimes Uganda Premier League era Express, ye yasoose okufuna ggoolo ng'eyita mu Tony Odur mu ddakiika eya 31.
Express, ejjudde abazannyi abaasalibwako mu ttiimu endala, bazze bawaga okwesasuliza ku Vipers, emu ku ttiimu ezaabajojobya sizoni ewedde kata ekyambye kibasaleko. Nga wayise eddakiika 4 nga Express eteebye, Vipers yafunye peneti kyokka Dan ‘Muzeeyi’ Serunkuuma n’emulema okunywesa.
Ng'ekitundu ekyokubiri kyakaddamu omutendesi wa Vipers, Javier Martinez Espinosa yakoze enkyukakyuka nga mu kya Sserunkuuma yayingizzaamu Okello eyabateebedde ggoolo ng'ebula eddakiika musanvu omupiira okuggwa.
ABAWAGIZI BAaWAKANYIZZA GGOOLO
Kyokka ggoolo Okello gye yateebye, abawagizi abamu baagiwakanyizza nti yabadde akuumye. Bano baasoose kwegugunga okumala akaseera wabula oluvannyuma bazze mu nteeko era omupiira ne gugenda mu maaso.
SC VILLA Y'ekoobe dde Oluvannyuma lwa Maroons okuwangula Onduparaka, kyalese SC Villa ku ntobo ya ttebo nga mu mipiira 7, tennawangulayo n'ogumu era erina obubonero 3. Maroons, yawezezza obubonero 5, Paidha Black Angels ne Nyamityobora zirina 4 buli emu