TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kitunzi wa Sanchez amwagaliza Real Madrid

Kitunzi wa Sanchez amwagaliza Real Madrid

Added 13th November 2018

Okuva lwe yeegatta ku ManU omwaka oguwedde, akyalemeddwa okukolawo eky’enjawulo era naye si musanyufu ng'ayagala kugyabulira.

Sanchez

Sanchez

KITUNZI wa Alexis Sanchez, yeewaddeyo ayiggire omuzannyi we ttiimu endala wadde nga ManU tennayogera ku kya kumutunda.


Okuva lwe yeegatta ku ManU omwaka oguwedde, omuzannyi ono akyalemeddwa okukolawo eky’enjawulo era naye si musanyufu ng’ayagala mu katale ka January, ayabulire ManU.


Nga ManU ekubwa Man City (ggoolo 3-1), Sanchez yatandikidde ku bbenci n'ayingizibwa mu ddakiika eya 73. Mu mipiira 29 egisembyeyo, ateebeddemu ggoolo 4.


Kizze kigambibwa nti PSG eya Bufalansa eyagala kumugula kyokka agava e Spain galaga nti kitunzi we, Fernando Felicevich ayogerezaganya ne Real Madrid alabe oba esobola okumugula mu January.


Real Madrid enoonyayo muteebi okuggumiza ekyoto era Sanchez yandibasikiriza okumugula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...