TOP

Nkumba etandikidde mu ggiya okweddiza ekya Volley Ball

Added 15th November 2018

Nkumba etandikidde mu ggiya okweddiza ekya Volley Ball

Bya Gerrald Kikulwe

Fayinolo ya National Volleyball League

NDEJJE 0 – 3 NKUMBA (Abakyala)

UCU Doves 0–3 Nemo Stars (Abaami)

BANNANTAMEGGWA ba Liigi y’eggwanga eya Volleyball mu bakyala aba Nkumba b’atandise na busungu okulaba nga beddiza ekikopo eky’omulundi ogwomukaaga bwe baawuttudde Ndejje enzannya 3-0 ku fayinolo eyasoose eya sizoni eno.

Ku lwokusatu mu MTN Arena,Nkumba yeefuze enzannya zonna essatu ku bugoba 25-21, 25-14 ne 25-16 ekyabongedde essuubi ly’okwesasuza Ndejje okuva lwe yabasuuza ekikopo kya 2016 bwe yabawangula emirundi ebiri kw’egyo esatu gye babbinkana ku fayinolo y’omwaka ogwo.

Anthony Lakony atendeka Nkumba agamba nti bamalirivu okulwanirira ekikopo kino nga kati beetaaga kuwangula nsisinkano eyokubiri baweze ebikopo 6 ebya liigi.

Wabula Alex Mugoda atendeka Ndejje naye agamba nti akyalina essuubi nti basobola okudda engulu ku nsisinkano eddako ne bawangula n’esembayo okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Nkumba okutuuka ku fayinolo yaggyeemu UCU Lady Doves ku wiini 2-0 ate Ndejje yawandulamu Sport’s ku wiini 2-0.

NEMO stars bannantameggwa ba sizoni ewedde mu baami nabo batandise na buwanguzi  ku fayinolo za sizoni nga baagala kweddiza kikopo.

Ttiimu zonna zaakuzannya emirundi esatu ku fayinolo wabula ssinga emu ewangula ebbiri egisooka olwo ensisinkano eyokusatu ssi yakuzannyibwa, baddamu kubbinkana ku lwomukaaga luno mu MTN Arena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...

Bamwenda ng'ayogerako eri abamawulire e Najjanankumbi.

Aba FDC bali mukusoberwa

OKUSOBERWA kweyongedde mu kibiina kya FDC ku muntu anaakwatira ekibiina bendera ku kifo ky'Obwapulezidenti. Eggulo...