TOP

Police yeetegekera URA mu liigi

Added 20th November 2018

Police FC ezzeemu okutendekebwa okw'akaasammeeme nga yeetegekera okuzannya URA mu liigi

Abazannyi ba Police mu kutendekebwa e Lugogo

Abazannyi ba Police mu kutendekebwa e Lugogo

Bya ISMAIL MULANGWA

OMUTENDESI wa Police FC, Abadallah Mubiru, abazannyi yabayise kipayopayo okuddamu okutendekebwa oluvannyuma lw’akakiiko ka liigi okumutegeeza nga bwalina omupiira  ne URA ku Lwomukaaga mu StarTimes Premier League.

Police emaze wiiki nnamba nga tetendekebwa ng’ekimany nti eddamu okuzannya liigi nga November 30, kyokka ku Mmande bazzeemu okutendekebwa e Lugogo, basobole okwang'anga URA gye bakyalira e Namboole.

Omupiira guno gwali gwakubaawo nga November 13, wabula ne gukyusibwa okusobozesa ttiimu z’eggwanga eya Cranes ne Kobs, ey’abali wansi w’emyaka 23 okwetegekera emipiira gya Afrika egy’enjawulo ne Cape Verde, ssaako  South Sudan.

Abdallah Mubiri, atendeka Police FC

 

The Cranes yawangudde Cape Verde ggoolo 1-0 ku Lwomukaaga, sso nga Kobs edding'ana ne South Sudan ku Lwokubiri (November 20). Mu gwasooka nga November 14 e Lugogo, Kobs yawangula ggoolo 1-0.

Mubiru,  eyasangiddwa ku kisaawe kya KCCA we bakyaliza, yategeezezza agenda kukola ekisoboka okulaba ng’abazannyi badda ku mutindo gwe baaliko nga liigi tennawummula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...