TOP

Drogba annyuse omupiira

Added 22nd November 2018

Drogba, yakola erinnya mu Chelsea era abazibizi b'omutawaana baali batya okumusisinkana.

 Drogba

Drogba

EYALI ssita wa Chelsea, Didier Drogba, annyuse okuzannya omupiira oluvannyuma lw'emyaka 20!

Drogba, nga kati aweza emyaka 40 yacaaka nnyo mu Chelsea, gye yazannyira emirundi ebiri egy'enjawulo emipiira 381 ne ggoolo 164 era ajjukirwa mu fayinolo ya Champions League bwe yateeba ggoolo eyabawa ekikopo nga bakiremesa Bayern mu 2012. Premier, yawangula ebikopo 4 (2005, 2006, 2010 ne 2015) wabula omupiira agunnyukidde mu Amerika mu ttiimu ya Phoenix Rising, gy'alinamu emigabo.


Drogba agamba nti ekimuggye ku mupiira kwe kuwa bamusaayimuto ekyanya okukulaakulanya ebitone byabwe ate nga naye bw'abayambako.
"Nnina okubaako kye nziriza omupiira era ngenze okulaba nga nnina kukikola nga mpummudde." Drogba bwe yategeezezza.


Omupiira gwa pulofeesono, Drogba yagutandikira mu Le Mans mu 1998 eya Bufalansa era azannyidde kiraabu 8 ez'enjawulo mu nsi 7 ez'enjawulo.
Drogba nzaalwa y'e Ivory Coast era agamba nti kitaawe yali tamwagaliza kusamba mupiira nti guyinza okumulemesa okusoma obulungi kyokka oluvannyuma, mutabani we ono yamusanyusa olw'omupiira ogumufudde ow'ettuttumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...