TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Emery ayagala kumegga Spurs agiggye mu bana abasooka

Emery ayagala kumegga Spurs agiggye mu bana abasooka

Added 26th November 2018

Okuva Man City ne Chelsea lwe zaakuba Arsenal mu gyaggulawo sizoni, teddangamu kukubwa.

 Abazannyi ba Arsenal nga basanyukira ggoolo ya Aubameyang. Arsena yawangudde Bournemouth (2-1).

Abazannyi ba Arsenal nga basanyukira ggoolo ya Aubameyang. Arsena yawangudde Bournemouth (2-1).

OMUTENDESI wa Arsenal, Unai Emery agambye nti eky'okuba nti ttiimu ye emaze emipiira 17 mu mpaka zonna nga tekubiddwaamu tekikola makulu wabula ekisinga obukulu kwe kugizza ku ntikko.

Emery yabadde ayogera n'abaamawulire oluvannyuma lw'omupiira gwa Bournemouth, Arsenal gwe yawangudde ggoolo 2-1 ku Ssande.

Emery agamba nti balina okulwana okulaba nga basigala nga bawangula bawe abawagizi essanyu ssaako okuzza Arsenal mu bifo bye yabeerangamu edda.

 iigi ya remier bweyimiridde Liigi ya Premier bw'eyimiridde.

 

Arsenal ebadde emaze emipiira ena ng'ekola maliri nga ku gino, esatu gya Premier (Wolves 1-1, Liverpool 1-1 ne Crystal Palace 2-2) era obuwanguzi bwe baafunye ku Ssande, bwabazizzaamu endasi.

Bali mu kyakutaano ku bubonero 27 era Emery yategeezezza nti balina okulwana ennyo ku Ssande bawangule Spurs bagiggye mu bana abasooka bo beesogge ekimu ku bifo ebyo.

 mery omutendesi wa rsenal Emery omutendesi wa Arsenal.

 

Spurs yawangudde Chelsea ggoolo 3-1 ku Lwomukaaga ne yeesogga ekyokusatu olwo batabani ba Maurizio Sarri ne badda mu kyokuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.