TOP

Az'awaka zaavuyizza mu Star Times Premier liigi

Added 2nd December 2018

Az'awaka zaavuyizza mu Star Times Premier liigi

Ebivudde mu gya wikeendi mu Star Times League:

Nyamityobola 0 – 1 SC Villa

Maroons FC 0 – 1 KCCA FC

Express FC 0 – 2 Onduparaka

Police 3 – 1 Mbarara City

Paidha Black Angels 0 – 3 Bright Stars

Ttiimu za Uganda nnyingi ezibadde awaka ziswazizza abawagizi baazo mu mipiira gya wikeendi bwe ziwanguddwa.

Ku ttiimu eziwangudde, SC Villa y’esinze okujaganya bw’ekubye Nyamityobola e Wankulukuku n’efuna obuwanguzi obusoose mu liigi nga gubadde mupiira gwa mwenda era abawagizi ne batandika okujaganya nga bawaana omutendesi omuggya Douglas Bamweyana eyagibadde mu mitambo ng’ewangula.

Ebadde ggoolo ya Peneti eteebeddwa Bashir Batanda mu kitundu ekyokubiri wabula nga basobodde okugikuuma olubawa obuwanguzi ne bawona amaliri agaavuddeko omutendesi eyatandise ne ttiimu sizoni eno Moses Basena okulekulira.

Wabula aba Nyamityobola ekulira Ying. Ben Misagga eyali akulira SC Villa sizoni ewedde ne bayoomba nti peneti yabaddewo mu bukyamu.

“Omupiira gukukuba gutya mu mugongo ate ddiifiri n’agaba peneti”, omu ku b’ekikugu ku ttiimu ya Nyamityobola Makumbi bwe yabuuzizza.

Obuwanguzi bujje SC Villa mu lwokaano lw’okusalwako n’edda mu kifo ekye 11 ku kimeeza kya liigi ng’erina obubonero 7.

Express FC nayo efulukidde ku butaka bw’ekubiddwa Onduparaka 2-0 ku kisaawe kyayo e Wankulukuku abawagizi ne bayoomba.

Erina kati obubonero 13 mu mipiira mwenda so nga KCCA nayo yakubidde Maroons omwayo ggoolo 1-0.

KCCA FC eri ku ntikko ya liigi n’obubonero 21 mu mipiira mwenda ng’eddiriddwa Bright Stars ku bubonero 18 mu mipiira nayo 9.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...