TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttiimu z'oku Kaleerwe zittunse mu mupiira

Ttiimu z'oku Kaleerwe zittunse mu mupiira

Added 3rd December 2018

Kajubi Market FC ye nnatameggwa w'endala okuva mu katale k'oku Kaleerwe,mu mupiira

 ssentebe wa Freedom Market FC, Saidi Waiswa (owookusatu ku kkono), ng'akwasa  Augustin Balinya, kapiteeni wa Kajubi FC, ekikopo.

ssentebe wa Freedom Market FC, Saidi Waiswa (owookusatu ku kkono), ng'akwasa Augustin Balinya, kapiteeni wa Kajubi FC, ekikopo.

Guaguarian FC (5) 1-1 (4) Semiguwa Market FC

Freedom Market FC (1) 1-1 (4) Kajubi Market FC

WADDEMathias Hulesio yasoose kubeera muzira wa ttiimu y'abatikula ebyamaguzi (Freedom Market FC) mu katale k'oku Kalerwe,  omupiira gye gwaggweredde ng'abawagizi bamwekokkola.

Bano baabadde battunka ne Kajubi Market ku fayinolo y'empaka z'abasuubuzi b'omu katale k'oku Kalerwe ku kisaawe e Bwaise. Ttiimu 12 ze zeetabye mu mpaka zino ezaabadde ez'omulundi ogwokubiri. Freedom Market FC ye yawangula ezaasooka.

Mu mupiira guno, abasuubuzi b'ennyanya (Kajubi Market FC) be baasoose okukulembera mu kitundu ekisooka nga bayita mu Faizal Nsubuga, wabula Mathias Hulesio n'afunira Freedom Market FC ey'ekyenkanyi mu kitundu ekyokubiri.

Wabula wadde Hulesio yasobodde okukomyawo ttiimu ye mu muzannyo, peneti z'agenze okuggwayo nga banne bamwekokkola oluvannyuma lw'okubeera omu ku baasubiddwa peneti nga bawangulwa 4-1.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...