
Abazannyi ba URA
URA 0-0 Tooro United
Ndejje 0-0 Kirinya Jinja SS
URA FC yeeyongedde okulaga nga bw’erina okufuna abatebi, bw'eremeddwa okuteeba mu mupiira ogw’okutaano oguddiring’ana, mu liigi y’eggwanga eya StarTimes Premier League.
Balemaganye 0-0 ne Tooro United mu guzannyiddwa mu kisaawe e Namboole ku Lwokubiri akawungeezi.
Ekisinga okwennyamiza kwekuba ng’emipiira gino gyonna giggweera mu maliri ga 0-0. URA yasooka kalemagana ne BIDCO, Police, Nyamityobora, Villa ssaako n’ogwa Maroons ogwaggweera mu 1-1.
Kati URA yaakazannya emipiira 9, ewangudeko 2 n’eremagana 7 era eri mu kifo kyamunaana ku bubonero 13.
Sam Ssimbwa, agitendeka agamba nti abateebi be bakyalemeddwa okukozesa emikisa gye bafuna kuba kumpi buli mupiira babaako ggoolo ezibalema. Wabula yagumizza abawagizi ba ttiimu eno nti agenda kugezaako okukyusa mu bukodyo okutuusa abazannyi lwe banatandika okuteeba ne bawangula emipiira
Mu ngeri y’emu, Wasswa Bbosa atendeka Tooro United, ebibye bikyali bizibu kuba kati yaakawangula omupiira gumu gwokka ku 9 gye yaakazannya. Bbosa, eyava mu SC Villa okugenda mu Tooro, yagula abazannyi 12 kyokka ttiimu ekyamulemye okusitula omutindo.