TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabonge atiisizza okusuulawo Entebbe FC mu Big League

Kabonge atiisizza okusuulawo Entebbe FC mu Big League

Added 7th December 2018

Kabonge atiisizza okusuulawo Entebbe FC mu Big League

OMUTENDESI wa Entebbe FC Allan Kabonge azze akola erinnya n'ebyafaayo mu ttiimu za Big League ez'enjawulo,ku luno obuwanguzi bumwesambye n'atiisatiisa okusuulawo omulimu amangu ddala ng'ekitundu kya sizoni ekisooka kiwedde.

Kabonge ajjukirwa ayingizza ttiimu za Big League ssatu mu sizoni ssatu ez'omuddiringanwa okuli Paida Black Angels(2017/18), Masavu FC (2016/17) ne Onduparaka FC(2015/16) wabula sizoni eno ebintu bimutabuseeko nga mu mipiira ettaano ttiimu ye gye yaakazannya terinaamu wiini yonna era wano we yeekyangidde n'atiisatiisa okusuulawo ttawulo .

Agamba nti ttiimu erimu emivuyo mingi egitasobozesa bazannyi kutendekebwa bulungi nate naye mmwenyini talina busobozi buyimirizaawo ttiimu ku ssente ze ng'esinga obulungi kwe kugyabulira.

"Ttiimu eno bw'eteetereeza,ekitundu kya sizoni ekisooka bwe kiggwa nga nfuna ekibanja awalala kuba nze siri mutendesi wa mivuyo wabula buwanguzi," Kabonge bwe yatiisizatiisizza.

Amuka Bright Stars kati eri mu kifo kya kubiri n'obubonero 9 emabega wa Light SS FC abakulembedde ekibinja kya Elgon n'obubonero 11 ate Entebbe FC y'esembye n'obubonero 4.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...