TOP

Kiboga ewaga mu Big League

Added 14th December 2018

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo obunkenke n’okuvuganya okw’amaanyi.

Moses Makoyani owa Kiboga ku ddyo ng'attunka ne Ambrose Naturinda owa Ntinda

Moses Makoyani owa Kiboga ku ddyo ng'attunka ne Ambrose Naturinda owa Ntinda

Bya GERALD KIKULWE

Egyazannyiddwa mu Big League

Wakiso Giants 1-0 UPDF

JMC Hippos 1-1 Entebbe  FC

Bukedea T/C 2-1 Light S.S FC

Dove FC 1-0 Kira United FC

Kitara FC 0-0Kansai Plascon FC

Proline FC 2-1Water

Zino ze ttiimu ebbiri zokka ezitanakubwamu bukya liigi etandika sizoni eno mu kibinja wabula omutendesi wa Kiboga  Felix Ssekabuuza agamba nti agenda kufiirawo okuwanulayo Proline ku ntikko ng'ekitundu kya sizoni ekisooka tekinaggwa.

"Tetugenda kuzannyira mu bubonero mu mipiira ena egisigaddeyo okuwunzika ekitundu kya sizoni ekisooka okutangaaza emikisa gy'okumalira ku ntikko y'ekibinja," Ssekabuuza bwe yategeezezza.

Isaac Otto ne Jamil Kisitunule be baatebedde Kiboga FC bwe yabadde emegga Ntinda United FC  ggoolo 2-0 nga kati erina obubonero 14 emabega wa Proline ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n'obubonero 16.

Ttiimu ekulembera ekibinja (Rwenzori ne Elgon) eyitawo butereevu okwesogga Liigi ya babinywera ate owookubiri n'owokusatu bazannya "Play offs" okufunako ttiimu eyokusatu okwesogga "Super"

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...