TOP

Express ekomyewo kuyigga bubonero

Added 28th December 2018

Mu mipiira omukaaga egisembyeyo, ekubiddwaamu gumu, amaliri 3 ne wiini 2.

Lwakutaano mu liigi

URA - Onduparaka, Namboole

Express - Nyamityobora, Wankulukuku

EXPRESS y'emu ku ttiimu ezitakkiririza kuziwangulira mwazo.

Mu mipiira omukaaga egisembyeyo, ekubiddwaamu gumu, amaliri 3 ne wiini 2.

Kyokka ku mulundi guno, omutendesi Kefa Kisala yeekengedde Nyamityobora gye bakyaza leero (Lwakutaano), n'agamba nti omupiira guno guyinza okubeera omuzibu kuba abagenyi bazannya ng'abali ku fayinolo.

Express, eyakubiddwa Villa 2-0 mu gusembyeyo, e Wankulukuku yasembye kuwangulirayo KCCA 3-2, era Kefa agamba nti omutindo guno gw'asuubira okukomyawo.

Okutuukiriza kino, eggulo ku Lwokuna abazannyi yabatendese kulumba na kukuba mipiira mu ggoolo.

Ne Nyamityobora ekyaliza mu kisaawe kino, Kisala ky'agamba nti kigyongera amaanyi.

Wabula omupiira bwe guba guzannyibwa byafaayo, Kisala teyandibadde na bweraliikirivu bwonna, kuba bukya Nyamityobora eyingira liigi, tewangulangayo mupiira ku bugenyi.

Ekinene kye yali ekoze gaali maliri (0-0) ne URA e Namboole. Tony Odur, Ruben Kabuye, Arthur Kiggundu ne Isaac Mutanga (Express) tebaguliimu lwa buvune.

URA - Ondupara ka FC, Namboole Simon Masaba, ali mu mitambo gya Onduparaka, yaliko kapiteeni wa URA, n'abeerako n'omumyuka w'omutendesi nga tebannamugoba.

Ng'oggyeeko ekyo, mu Onduparaka mulimu Oscar Agaba ne Nicholas Kagaba abaazannyirako URA, era bagamba nti ke kaseera okubakuba awaluma.

Sizoni ewedde Onduparaka yali tekola bulungi ku bugenyi, naye ku luno yalinnyisizza omutindo kuba yaakawangula 3 ekubiddwa 2, n'okulemagana gumu.

Ate ye Sam Ssimbwa, atendeka URA, alwana kukuuma likodi ey'obutakubwamu bukya sizoni etandika.

Baasembye kuwangula Bright Stars (2-0), oluvannyuma lw'emipiira 7 ng'ekola maliri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...