TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Proline erwana kudda ku ntikko mu Big League

Proline erwana kudda ku ntikko mu Big League

Added 3rd January 2019

Ttiimu ya Proline ekyalidde Kasai Plascon n'ekigendererwa ky'okweddiza entikko y'ekibinja kya Rwenzori mu Big League

 Duncan Ssemakula owa Kiboga (ku kkono)ng'attunka ne Noordin Ndugwa owa Kiboga Young

Duncan Ssemakula owa Kiboga (ku kkono)ng'attunka ne Noordin Ndugwa owa Kiboga Young

Bya GERALD KIKULWE

Lwakuna mu Big League

Kitara FC - Ntinda United FC, Hoima

Bumate United FC - Kira United FC,Bundibugyo

Kiboga Young FC - Doves FC,Kiboga

Kansai Plascon FC -Proline FC,Mukono

Light S.S FC -UPDF FC,Amuria

Nebbi Central FC - Kyetume FC,Nebbi

Entebbe FC - Wakiso Giants FC,Wankulukuku

Doves All Stars FC - Bukedea Town Council FC,Arua

Ng'ebula emipiira ebiri gyokka okuwunzika ekitundu kya sizoni ya Big League ekisooka, ttiimu zirwanira bifo na ntikko ya bibinja.

Proline FC ekyalidde Kasai Plascon ng'eyagala buwanguzi yeeddize entikko y'ekibinja kya Rwenzori. Wiiki ewedde, Proline, ebadde tennakubwamu sizoni eno, yawanguddwa Kiboga Young FC ku ggoolo 2-1, ku kisaawe e Lugogo. Kiboga y'ekulembedde n'obubonero 20, ate Proline mu kyokubiri erina 19.

Ronald Kaweesa, amyuka omutendesi, agamba nti okukubwa kwabakosa nnyo naye kati batunuulidde mupiira guddako balabe nga bafuna obubonero obusatu okwongera okutaangaaza emikisa gy'okuddayo mu ‘Super' sizoni ejja.

"Plascon y'amaanyi ate eri waka, naye essira tulitadde ku kufuna buwanguzi era nzikiriza nti tugenda kuvaayo nabwo," Kaweesi bwe yagambye.

Ibrahim Ssendi, Ibrahim Wammaanah ne Hakim Kiwanuka tebagenda kuzannya olw'obuvune, kyokka Sam Kintu abadde ku kkoligo lya kaadi emmyuufu, akomyewo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aloysious Mukasa ( ku ddyo) ng’ayambaza owa bodaboda ekikoofiira kye yamuwa.

Abavuganya abayiye ssente m...

Mukasa avuganyiza ku kaadi ya NUP mu Lubaga South bw'omuzza mu kyama agamba nti bw'abalamu ssente ze yakasaamu...

Ekimu ku bizimbe by’omugagga. Mu katono ye Baseka ne Kisige

Eyanoba emyaka 30 akomyewo ...

MARY Norah Baseka baamukuba embaga mu 1981. Yatabuka ne bba n’anoba kati emyaka 30 egiyise. Wabula bwe yawulidde...

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...