TOP

Nakanyike awangulidde Uganda feeza mu mpaka za Chase

Added 6th January 2019

Nakanyike awangulidde Uganda feeza mu mpaka za Chase

 Nakanyike ng'alaga omudaali

Nakanyike ng'alaga omudaali

Musaayimuto Maria Nakanyika amenye likoda bw'awangulidde Uganda omudaali gwa Feeza ogusoose mu mpaka za Chess wa Africa mu bato abali wansi w'emyaka 20.

Mu mpaka ezimaze ennaku 10 ku woteeri ya J and M Airport Road Hotel e Bwebajja, Nakanyike omuyizi wa P.7 ku St. Mercelina Academy e Matugga Nakanyike asoose kumegga muzannyi wa Botswana, Marape Naledi wadde nga bombi bamalidde ku bubonero 7.

Nakanyike abadde ne likoda ng'era yawangula omudaali gwa feeza mu mpaka za Africa ez'amasomero omwaka oguwedde era nga ye yalondebwa ekibiina kya bannamawulire abawandiika ag'emizannyo ekya USPA ku buzannyi bwa Chess obwa 2018.

Obuwanguzi mu za Africa buwadde Nakanyike ekitiibwa kya Woman Fide Master.

Empaka ziwanguddwa Du Plessis Anika owa South Africa mu bakazi so nga Djabri Massinas owa Algeria n'akwata ekyokusatu.

Uganda yayingizza abazannyi 13 mu mpaka zino nga mu balenzi, Richard Kato ku bubonero 5.0 y'asinze okukola obulungi bw'amalidde mu kyomukaaga n'addirirwa Abel Matovu (4.5) ne Emmanuel Musasizi ku 4.0).

Abawanguzi abasatu mu bakazi n'abasajja bagenda kukiikirira Africa mu mpaka z'ensi yonna mu India mu August omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo