TOP

KCCA bataka mu Congo Brazzaville

Added 12th January 2019

OMUTENDESI wa KCCA Mike Mutebi yagenze agumizza abawagizi ba ttiimu eno nti alina abazannyi abasobola okuwangulira omupiira mu Congo Brazzaville.

 Omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi

Omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi

Ssande mu CAF Confederations Cup AC Otoho - KCCA, e Congo

KCCA yasitudde eggulo ku Lwokutaano ku makya, okwolekera Congo Brazzaville, gy'egenda okuttunkira ne AS Otoho mu za CAF Confederations Cup, ku Ssande.

Ttiimu eno yasitudde n'ekibinja ky'abantu 32, mu nnyonyi ya Rwanda Air, nga kuliko abazannyi 18. 

Mutebi yaweze okudda n'obuwanguzi kuba agenda kulumba okutuusa lw'anaafuna ggoolo ezinaamutuusa ku kino.

Ebigambo bya Mutebi byongera okweyolekera mu bazannyi be yatutte kuba abasinga basobola okuzannya omupiira gw'okulumba.

Bano kuliko; Julius Poloto, Allan Okello, Muzamir Mutyaba, Mike Mutyaba, Allan Kyambadde, Jackson Nunda, Gift Ali, Patrick Kaddu n'abalala. Mutebi yagambye nti abazannyi bano buli omu asobola okumuteebera ggoolo era mugumu nti bagenda kukikola.

"Omupiira gw'okuzibira gwasigalira mu ttiimu eziteekakasa kye zikola naye KCCA ezannya gwa kuwangula," Mutebi bwe yategeezezza nga tebannasitula.

Abalala abaageenze kuliko; Charles Lukwago, Jamil Malyamungu, Filbert Obenchan, Hassan Musana, Mustafa Kizza, Lawrence Bukenya, Isaac Kirabira n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...