TOP
  • Home
  • Rally
  • Ronald Ssebuguzi awonye okugwa mu masiga

Ronald Ssebuguzi awonye okugwa mu masiga

Added 22nd January 2019

Nnakinku mu kuvulumula mmotoka, Ronald Ssebuguzi, yeewangulidde omufumbi w'ettooke

 Ronald Ssebuguzi ne kabiite we Najjuka

Ronald Ssebuguzi ne kabiite we Najjuka

NNAKINKU mu kuvulumula mmotoka, Ronald Ssebuguzi, akooye okugwa mu masiga n'okulya ekikomando, ne  yeefunira omufumbi w'eddigobe.

Ssebugizi yeewangulidde mwana muwala Suzan Najjuka,  n'asalawo amutwale amukube embaga amugobeko abasajja abalala ababadde bamulookera.

Ku Lwomukaaga, Ssebuguzi yatutte  Najjuka ku Lutikko e Lubaga ne beelayirira buli omu okufiira ku munne, mu buli mbeera.

Oluvannyuma baasembezza abagenyi baabwe ku wooteeri ya Silver Springs e Bugoloobi, gye baabagabulidde ebyendya n'ebyenwa, ne basindisa bigere.

Mu baabaddewo kuliko  nnantameggwa wa mmotoka ow'omwaka oguwedde, Susan Muwonge ‘Super Lady', n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...