TOP

Aba Rotaract club Kyengera bawadde Eng. Moses Magogo engule

Added 22nd January 2019

Aba Rotaract club Kyengera bawadde Eng. Moses Magogo engule

 Eng. Moses Magogo ng'abakungu ba Rotaract Club bamukwasa engule eggulo ku Lumumba avenue

Eng. Moses Magogo ng'abakungu ba Rotaract Club bamukwasa engule eggulo ku Lumumba avenue

ABAVUBUKA ba Rotaract Club e Kyengera basiimye pulezidenti wa FUFA Eng.Moses Magogo olw'emirimu emirungi gy'akoledde Bannayuganda ng'ayita mu kukulaakulanya emizannyo mu ggwanga naddala omupiira bwebatyo ne bamukwasa engule.

 bakungu ba otaract lub nga bayozaayoza ng oses agogo Abakungu ba Rotaract Club nga bayozaayoza Eng. Moses Magogo

Omukolo guno gw'abaddewo olunaku lw'eggulo ku Valhalla Restaurant Restaurant esangibwa ku luguudo lwa Lumumba Avenue mu Kampala akawungeezi mu lutuula lw'ekibiina olubaawo buli mmande.

ngule eyaweereddwa ng oses agogoEngule eyaweereddwa Eng. Moses Magogo

Bano baategeezezza nti buli mwaka bagaba ekirabo kya Vocational Award eri Munnayuganda gwe babeera balonze nga bamusiima olw'okubaako emirimu emirungi gy'akoze okuzimba eggwanga era ng'omwaka guno basazeewo okumusiima Pulezidenti wa Fufa Eng.Moses Magogo  olw'obukulembeze bwe obuyambye  ennyo omupiira gwa Uganda okubaako ebirungi gye gutuukako n'okusingira ddala ttiimu y'eggwanga eya ‘The Uganda Cranes' okuyitamu okuzannya mu mpaka za Africa ez'akamalirizo emirundi ebiri egy'omuddiring'aanwa oluvanyuma lw'emyaka 38.

 Eng. Moses Magogo nga bamugabula keeki

Annet Mary Nanziri Mary ssentebe wa Rotaract Club e Kyengera yategeezezza nti omwaka guno balonze Magogo okumusiima olw'emirimu gyakoze mu bukulembeze bwe kati buli lweboogera ku mupiira gwa Uganda abantu bafuna akamwenyumwenyu ekitaaliwo luli.

 ng oses agogo nga yebaza abakungu ba otaract lub olwokusiima emirimu gye Eng. Moses Magogo nga yebaza abakungu ba Rotaract Club olw'okusiima emirimu gye

Ye Eng. Moses Magogo olwamukwasizza engule eno yebazizza nnyo aba Rotaract Club olw'okusiima emirimu gye ng'omuntu ssaako FUFA yonna okutwaliza awamu. 

 ng oses agogo ngayogera ku ngule emuweereddewa Eng. Moses Magogo ng'ayogera ku ngule emuweereddewa

Kinneewunyisizza nti abavubuka abato bwebati abatannaweza na myaka 30 basobola okulaba ebirungi byetukola mu buweereza bwaffe era ne batusiima. Kino kizzaamu amaanyi era kati naffe tugenda kubaweereza nga tuli bagumu nga tukimanyi nti ebintu byetukola abantu babiraba era babisiima." Bwatyo Pulezidenti wa FUFA Engo Moses Magogo bweyategeezezza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...

Bamugemereire

Abakulembeze abaalondeddwa ...

BANNABYABUFUZI abaakalondebwa balagiddwa okweteekateeka okwanjula ebyobugagga byabwe ng'etteeka ly'abakulembeze...