TOP

Eya Lukanga esemberedde ekikopo

Added 27th January 2019

Lukanga Boxing Club yayongedde okusemberera ekikopo bwe yeefuze oluzannya lwa ‘semi’ n’etuusa abazannyi 4 ku fayinolo mu mpaka za ‘National Open Boxing Championship’.

 Yusuf Babu owa COBAP (ku kkono) nga yeewoma enguumi ya Paul Kayondo.

Yusuf Babu owa COBAP (ku kkono) nga yeewoma enguumi ya Paul Kayondo.

FRED KISEKKA

Empaka zino zimaze wiiki emu nga zibumbujjira mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo nga mu kiseera kino zaawumudde oluvannyuma lwa ‘semi' okuggwa. Kiraabu kati zirinze fayinolo ey'okubaawo nga February 3 mu kifo ky'ekimu.

Kiraabu ya Lukanga ekulembeddemu zinnaazo n'obubonero 19 ng'eddirirwa East Coast ku (16), Police (14) ate COBAP, KCCA ne University Of Pain zisibaganye ku bubonero 12.

Lukanga kati yeetaaga kuwangulako ennwaana 3 ku 4 ezisigaddeyo esitukire mu kikopo.

Ezimu ku nnwaana ezaabadde ez'obunkenke ku ‘Semi' lwe lwa Yusuf Babu owa COBAP bwe yabadde awangula Paul Kayondo owa kiraabu ya Zebra.

Endala kwabaddeko olwa Joshua Male (Zzana Boxing Club) eyakubye John Owino (UPDF) ne Muhammad Lwanga (Katwe) ng'akuba Moses Kabuuka owa Police.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo