TOP

Mike Mutebi baamulanze bwemage

Added 28th January 2019

FUFA yabonerezza abatendesi Mike Mutebi (KCCA FC), Sam Ssimbwa (URA) ne Fred Kajoba owa Bright Stars.

 Kooki Mutebi ne Ssimbwa abaawewereddwa ebibonerezo

Kooki Mutebi ne Ssimbwa abaawewereddwa ebibonerezo

Ssimbwa mbu yayogera ebigambo ebisosola mu mawanga, Kajoba mbu yeesogga ekisaawe ng'awakanya peneti, omupiira ne guyimirira akabanga.

Ssimbwa bw'aba yalengezza abantu b'e Busoga, agwana okubonerezebwa. Ne Kajoba kye yakola tekigya mu bumanyirivu n'obukugu bwe.

Yalina kwogeraganya na ddiifiri wa ku katebe, n'ayita eyali alamula ne boogera ku nsonga sso si kutwala kifuba mu kisaawe.

Naye Mike Mutebi mulaba ng'omuntu alina obujulizi obwandimuggyiddwaako ne wabaawo okunoonyereza oba by'ayogera bituufu, oba bya nsimattu.

Naye kati ate aboobuyinza basibye omuntu abatemezzaako (informer) ate abazzizza emisango ne babaleka balye butaala!

Mu nkola entuufu, Mutebi yandiweereddwa omwagaanya okwanja ensonga ze mu lukiiko olunoonyereza okwewala emivuyo egyaliwo. Naye kati tunaakinogera tutya eddagala ng'amazima tugatuulidde?

Sigamba nti tubonereze abantu olw'emisango gye baakola edda, njagala kutegeera kiki ekyaliwo, kyava ku ki, era tuyinza tutya okukyewala?

Ekituufu kkampuni zaava mu mupiira ne zigulekera abantu ssekinnoomu olw'emivuyo egiyinza okwonoona ettutumu lyazo.

Ate n'abantu abamu ne bava mu mupiira olw'okulwana ku bisaawe n'emivuyo emirala. Tulina okumanya ekyabatwala tubazze, okusikiriza abalala n'okunyweza be tulina.

Waliwo SC Villa lwe yakuba Akol ggoolo 22-1! Tulabe engeri gye tuneewala ebintu nga bino ebiswaza.

atamale@newvision.co.ug 0772419501

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...