TOP

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Added 17th February 2019

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

 Mutebi (ku ddyo) ng’abuuza ku Moses Basena eyali atendeka Villa (wakati).

Mutebi (ku ddyo) ng’abuuza ku Moses Basena eyali atendeka Villa (wakati).

PULEZIDENTI wa Nyamityobora, Ying. Ben Misagga n'abalala mukaaga bali mu kattu oluvannyuma lw'olukiiko lwa FUFA olw'oku ntikko okulagira bayitibwe bakunyizibwe ku bigambibwa nti beenyigira mu bikolwa by'okudibaga emipiira.

Kigambibwa nti bano nga bayita mu kwogera eby'ensimattu, n'ebikolwa ebyekuusa ku kugulirira ebirala, baadibaga emipiira egimu, ekintu FUFA ky'egamba nti teyinza kukigumiikiriza.

Mu lutuula ku kitebe kya FUFA e Mengo ku Lwokuna nga lwakubiriziddwa pulezidenti, Ying. Moses Magogo, kyategeezeddwa nti abakungu abamu ku baayitiddwa lipoota eyakolebwa akakiiko akaatekebwawo ku nkomerero ya sizoni ewedde okunoonyereza ku nnamula embi eya baddiifiri n'emivuyo emirala mu liigi ebaluma era balina okunnyonnyola.

Olukiiko lwa FUFA olw'oku ntikko wano we lwasaliddewo okuyita Misagga, Smart Obedi owa Tooro United (eyali Soana), Jimmy Lukwago owa Kira Young n'abalala okuli; Salmin Saleh (BUL), David Were, Geofrey Mulibanga, n'omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi basindikibwe mu kakiiko ka FUFA ak'empisa beewozeeko. Beegattiddwaako kiraabu okuli; Mbarara City ne Tooro United nazo ezinoonyerebwako olw'ebikolwa ebikontana n'amateeka g'omupiira bye zeenyigiramu sizoni ewedde.

Gye buvuddeko, akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa mu mpaka ezitegekebwa FUFA nga kakulirwa Deo Mutabaazi kaakaliga Mutebi emipiira ena n'okumuweesa engassi ya bukadde bubiri lwa kugamba nti ebikopo bya liigi ya ‘super' mu myaka egiyise, ttiimu zaabiwangulanga lwa kugulirira kyokka nga talina bujulizi ku nsonga eno.

BADDIIFIRI BAYIMIRIZIDDWA;

Mu ngeri y'emu, baddiifiri; Ali Kaddu, Muzamiru Tulu, Ashraf Miiro, Richard Kimbowa ne Ndawula Shaban Mawanda nabo baayimiriziddwa okulamula emipiira oba okukola emirimu gyonna egyekuusa ku mupiira nga bwe banoonyerezebwako ku nsonga y'emu, eyeekuusa ku nnamula embi eyaliwo sizoni ewedde.

Ahmed Hussein, omwogezi wa FUFA yagambye nti akakiiko akakwasisa empisa kakwasiddwa ensonga zonna ezasaliddwaawo okuva mu lipoota era bano bonna kagenda kubayita essaawa yonna bannyonnyole, nga bwe kakola okunoonyereza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....