TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Musaayimuto akooye obutayitibwa ku y'eggwanga

Musaayimuto akooye obutayitibwa ku y'eggwanga

Added 21st February 2019

Musaayimuto wa Maroons akyusizza obutuuze n'adda mu South Sudan lwa butamuyita ku ttiimu z'eggwanga mu Uganda

 Ivan Wani mu mujoozi gwa South Sudan

Ivan Wani mu mujoozi gwa South Sudan

Bya BRUNO MUGOODA

MUSAAYIMUTO agucangira mu ttiimu ya Maroons Ivan Wani, akyusizza obutuuze.

Wani, abadde Munnayuganda, yafuuse munnansi wa  South Sudan, era yazannye nga ttiimu y'eggwanga  ey'abatasussa myaka 23 ezannya ogw'omukwano ne Kirinya Jinja SS.

Kinajjukirwa nti Uganda Kobs, ttiimu ya Uganda ey'abatasussa myaka 23, yawanduka mu mpaka za Afrika ez'omutendera guno, era South Sudan ye yagiggyamu.

Wani 20, yategeezezza Bukedde nti; Nindilidde okumpita ku ttiimu z'eggwanga  ez'abato ne nkoowa. Aba South Sudan bwe baampise mbazannyire nakitutte ng'ekikulu kuba ne bajjajjange gye basibuka.

Wani yakulira Jinja. Ttiimu zaazannyidde kuliko; Walukuba West, Maggwa FC ne Kirinya MuJinja SS.

Mu gy'omukwano egyazannyiddwa, South Sudan ne Maroons baagudde maliri  ga ggoolo 1-1, ate Kirinya Jinja SS n'egikuba 1-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...