TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Empaka z'amasomero ga siniya ziyiiseemu kavvu

Empaka z'amasomero ga siniya ziyiiseemu kavvu

Added 21st February 2019

Abaddukanya empaka z'amasomero ga siniya basuubizza okulinnyisa omutindo kkampuni ya Fresh Diary bwe bayiyeemu obuwumbi busatu

 Abakungu ba kkampuni ya Fresh Diary n'abakulembeze b'ekibiina ekiddukanya emizannyo mu masomero ga siniya, ekya Uganda Secondary Schools Sports Association, nga bali n'abamu ku bayizi ku Lwokuna

Abakungu ba kkampuni ya Fresh Diary n'abakulembeze b'ekibiina ekiddukanya emizannyo mu masomero ga siniya, ekya Uganda Secondary Schools Sports Association, nga bali n'abamu ku bayizi ku Lwokuna

EBBUGUMU mu mpaka z'amasomera ga siniya lya kweyongera oluvanyuma lw'okufuna siponsa agenda okugiteekamu kavvu.

Ku Lwokuna, kkampuni y'amata eya Fresh Diary yatongozza enkolagana yaayo n'ekibiina ekitwala emizannyo mu masomero ga siniya, ekya Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA), ku mukolo ogwabadde ku kitebe kyabwe mu kibangirizi ky'amakolero e Bugolobi.

Fresh Diary egenda kuteeka obuwumbi busatu n'obukadde 855 mu mpaka zino okumala emyaka etaano, ekintu Justus Mugisha, omuwanika wa USSSA, ky'agambye nti kyakwongera okulinnyisa omutindo gw'emizannyo mu masomero.

Ye Vincent Omoth, akulira ebya kitunzi mu Fresh Diary, yategeezezza nti kibakakatako okuddiza Bannayuganda olw'okubeebaza okubawagira, sso ng'era baagala okuzimba ebitone kubanga abazannyi bonna abali ku ttiimu z'eggwnaga ez'enjawulo, mu mizannyo egy'enjawulo, bayita mu masomero.

Empaka z'okusunsulamu mu distulikiti zigenda mu maaso,  ng'ezakamalirizo (ez'eggwanga lyonna) zaakubeerayo wakati wa May 4 ne 11, ku Mbale SS.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...