TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa lugendo

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa lugendo

Added 21st February 2019

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

 Cleophas Fiyati, kapiteeni wa Kabale Sharp, ng'akulukuta n'omupiira

Cleophas Fiyati, kapiteeni wa Kabale Sharp, ng'akulukuta n'omupiira

Bya GERALD KIKULWE

Mu Big League;

Egizannyiddwa ku Lwokuna

JMC Hippos FC 0-0 Kyetume FC

Kataka FC 1-2 Wakiso Giants FC

Doves FC 2-1 Ntinda United FC

Doves all Stars FC - Light SS FC

Amuka Bright Stars FC 0-2 UPDF FC

Doves all Stars FC 0-1 Light SS FC

Bumate 0-0 Kansai Plascon

Ku Lwokusatu;

Water FC 1-0 Kabale Sharp

OMUTENDESI wa Kabale Sharp FC eya  Big League,  Viali Bainomugisha, abaali bakamaabe aba Water FC bamusuuzizza obubonero 3 ne yeekwasa olugendo olwakooyezza abazannyi.

Ku Lwokusatu, Water FC yawangudde Kabale ggoolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku ekyakendeezezza emikisa gyaayo okutuuka ku mutendera gwa 'Play offs' kwe yawandukira sizoni ewedde, Paidha Black Angels bwe yagikubira ggoolo 3-0 e Lugogo.

Kyokka Bainomugisha yeegumizza nga bwe kikyasoboka okudda e Lugogo, n'agamba nti  olugendo oluwanvu okuva e Kabale okutuuka e Kampala,  lwe  lwakutudde abazannyi be ne kibalemesa obuwanguzi.

" Egisigadde tujja kugiwangula," Bainomugisha bwe yeegumizza.

Water FC eri mu kifo kyamusanvu  n'obubonero 15, emabega wa Kabale Sharp (18), mu kibinja kya Rwenzori, ekikulembeddwa Proline ku 26.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...