TOP

MUBS erumbye IUEA e Kansanga

Added 26th February 2019

OMUTENDESI wa MUBS Charles Lukula Ayiekho atuula bufofofo okulaba ng’afuna omuwanguzi obusooka mu Pepsi University League oluvannyuma lw’okulemererwa okumegga UCU mu gwaggulawo wiiki ewedde.

 Mayer Mandela owa IUEA ku kkono ng'attunka ne Hussein Mwanje owa KU

Mayer Mandela owa IUEA ku kkono ng'attunka ne Hussein Mwanje owa KU

Bya GERALD KIKULWE

Mu Pepsi University league

IUEA - MUBS, Kansanga(leero)

KIU - Busitema, Nsambya(Lwakutaano)

UCU - KU,Mukono(lwamukaaga)

Kumi - Kyambogo, Kumi(Ssande)

Enkalu za kulonda obukongovule leero(lwakusatu) nga ttiimu ya International University of East Africa ekyazizza ba Nnantameggwa ba liigi ya yunivasite emirundi ebiri egy'omuddiringanwa aba MUBS e Kansanga mu nsiike egenda okwawula ekibinja D oluvannyuma lwa zonna okukola amaliri ga 0-0 wiiki ewedde.

IUEA baakesogga liigi eno omulundi gwabwe ogusoose sizoni eno wabula ttiimu bwe bali mu kibinja zigikankana olw'omutindo gw'eyayolesa wiiki ewedde bwe yanyiga bannantameggwa ba liigi eno emirundi ebiri aba KU ne bakola maliri ga 0-0.

Ayiekho agamba nti omupiira guno tegugenda kuba mwangu naye nga gw'atunuulidde okufunako obuwanguzi obusooka okusobola okutangaaza emikisa gy'okuva mu kibinja D omuli UCU, KU ne IUEA.

Kino ky'ekibinja ekisinga embiranyi nga bonna balina akabonero kamu oluvannyuma lwa amaliri ga 0-0 mu nsiike za wiiki ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...