TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Owa Ndejje University abakubiriza okwekulaakulanya

Owa Ndejje University abakubiriza okwekulaakulanya

Added 26th February 2019

Asuman Lubowa, ow'ebyekikugu mu ttiimu ya Ndejje University akubirizza bannabyamizannyo okweyambisa ebitone byabwe okwekulaakulanya

 Wasswa Bbosa (ku kkono), Isaac Mukasa, nnannyini Real Stars, Yusuf Babu, Asuman Lubowa, Joel Mutakubwa ne Phillip Munaabi owa TopBoy.

Wasswa Bbosa (ku kkono), Isaac Mukasa, nnannyini Real Stars, Yusuf Babu, Asuman Lubowa, Joel Mutakubwa ne Phillip Munaabi owa TopBoy.

Akulira ebyekikugu mu ttiimu ya Ndejje University, Asuman Lubowa, akuutidde bannabyamizannyo okukozesa ebitone byabwe okwekulaakulanya.

Lubowa bino yabyogedde akwasa bannabyamizannyo abasukkulumye ku bannaabwe mu January, engule zaabwe, ku mukolo ogwabadde ku Kalifah Suites e Bugoloobi, ku Mmande.

"Mulina omukisa kuba kati waliwo abantu abasobola okusiima bye mukola, ekitaaliwo ku mirembe gyaffe. Mbasaba mukozese omukisa guno okwekulaakulanya," Lubowa bwe yagambye.

Lubowa, eyakulirako ebyekikugu mu FUFA, n'okuwangulira Police ekikopo kya liigi kyokka ky'erina mu 2005, yabawadde ekyokulabirako nti tajjukira kulaba Jackson Mayanja ng'asiimiibwa, sso ng'ekitone kye kyali kya waggulu nnyo okusinga ku bazannyi b'ennaku zino.

Kkampuni ya Real Stars Sports Agency y'essa ensimbi mu birabo bino, buli mwezi.

Bannabyamizannyo abaasinze bannaabwe kuliko; Wasswa Bbosa, omutendesi wa Tooro United, eyagiyambye obutakubwamu mu mipiira esatu gye baazannya mu January. Yamezze Livingstone Mbabazi (Mbarara City) ne Peter Onen owa BUL FC.

Bbosa yeegattiddwaako   ggoolokipa we, Joel Mutakubwa ataateebwamu mu kiseera kye kimu, sso nga yakwata ne peneti ssatu nga bawandula KCCA mu Stanbic Uganda Cup. Mutakubwa yawangudde Juma Balinnya, omuwuwuttanyi wa Police.

Ye omuggunzi w'ehhuumi, Yusuf Babu, owa kiraabu ya COBAP yamezze Shadir Musa (East Coast) ne Adinan Yasin owa Kibuli Mutajazi. Babu yawangudde omudaali gwa zaabu mu mpaka za National Boxing Open Championship.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.