TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Owa Kitara FC ali ku puleesa mu Big League

Owa Kitara FC ali ku puleesa mu Big League

Added 27th February 2019

Richard Makumbi owa Kitara FC agumizza abawagizi nga bw'ajja okutwala ttiimu eno mu liigi ya babinywera

 Noordin Bunjo owa Proline wakati ng'awaguza mu bazanyi ba Kitara FC  gyebuvuddeko

Noordin Bunjo owa Proline wakati ng'awaguza mu bazanyi ba Kitara FC gyebuvuddeko

Bya GERALD KIKULWE

Mu Big League (Lwakuna)

Kireka United FC - Dove FC,Namboole

Kabale Sharp FC - Bumate United FC, Kabale

Ntinda United FC - Kira United FC, Lugogo

Kyetume FC - Kataka FC, Nakisunga

UPDF FC - JMC Hippos FC, Luwero

Light SS FC - Amuka Bright Stars FC, Amuria

Entebbe FC - Bukedea T/C FC, Wankulukuku

Lwamukaaga

Kitara FC - Water FC, Kigaya

Wakiso Giants FC - Bukedea T/C FC, Bugembe

Nebbi Central FC - Doves All Stars FC, Nebbi

OMUTENDESI wa Kitara FC, Richard Makumbi, eyalayira nga bw'agenda okuyingiza ttiimu eno mu liigi ya babinywra, yandirya ebigambi bye.

Makumbi ali ku bunkenke oluvannyuma lwa Kira United FC, ekoobedde mu kibinja,  okumusuuza obubonero busatu wiiki ewedde e Namboole, bwe yakuba ttiimu ye ggoolo 1-0, sso nga ne Kyetume yamuwandula  mu Uganda Cup.

Ku Lwomukaaga, Kitara essungu lino eyagala kulimalira ku Water FC, gye yawangula 2-1 mu luzannya olwasooka e  Wankulukuku.

 ichard akumbi atendeka itara Richard Makumbi, atendeka Kitara FC

 

Kyokka Makumbi agumizza abawagizi n'agamba nti obunkenke weebuli naye ekyo kye bayita omupiira, naye agenda kulwana bwezizingirire okuyingiza ttiimu mu ‘Super' nga bwe yakyogera ng'aweebwa omulimu.

Kitara eri mu kifo kyakutaano n'obubonero 21, ate Water yamusanvu mu kibinja kya Rwenzori, ekikulembeddwa Proline FC ku 29.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...