TOP
  • Home
  • Rally
  • Blick aleese Ssemakula mu kya Bakunda

Blick aleese Ssemakula mu kya Bakunda

Added 27th February 2019

Blick ne Ssemakula baliko bombi mu myaka gy’e 90 nga Blick avuga emmotoka ekika kya Toyota Supra era nga wiikendi ejja lwe bagenda okuddamu okutuula mu mmotoka emu bwe banaabeera mu mpaka za Central Motor club challenge Rally ezigenda okubeera e Mukono.

Blick ng'abusiza emmotoka mu bbanga.

Blick ng'abusiza emmotoka mu bbanga.

KITUTTE omwezi gumu gwokka bukya Arthur Blick Jr alangirira nga musanyufu nti adding'anye n'omusomi wa maapu Unissan Bakunda bwe baawangula engule y'eggwanga mu 2015. Okudding'ana kwa bano kumaze empaka za mulundi gumu gwokka.

Omwaka guno, Blick yavuze ne Bakunda mu mpaka z'e Mbarara ezaggulawo kalenda era ne bakola bulungi bwe baamalidde mu kyokubiri. Wabula Bakunda ate yeefukuludde nga kati agenda kuvuga mmotoka sso si ku soma maapu. Blick kati agenda kuvuga ne George Semakula (ng'omusomi wa maapu).

"Unissan yazzeeyo kuvuga. Omwaka oguwedde yakola bulungi ng'avuga era twabadde tetulina ngeri gye tumulemesa kutuukiriza biruubirirwa bye. Ssemakula gwe ng'enda okuvuganaye mu mpaka ezisigadde alina obumanyirivu n'emmotoka ekika kya Mitsubishi EvoX," Blick bwe yawandise ku mukutu gwa ttiimu ye ogwa Facebook (Team Blick racing).

 semakula ku kkono ngali ne hristakis itidis mu mpaka ze barara omwaka oguwedde Ssemakula (ku kkono) ng'ali ne Christakis Fitidis mu mpaka z'e Mbarara omwaka oguwedde.

 

Blick ne Ssemakula baliko bombi mu myaka gy'e 90 nga Blick avuga emmotoka ekika kya Toyota Supra era nga wiikendi ejja lwe bagenda okuddamu okutuula mu mmotoka emu bwe banaabeera mu mpaka za Central Motor club challenge Rally ezigenda okubeera e Mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...