TOP

Bassita ba ManU basatu bassuuse

Added 1st March 2019

Rashford, Longard ne Juan Mata baalwalira mu nsiike yaabwe ne Liverpool.

 Ander Herrera, omuwuwuttanyi wa ManU.

Ander Herrera, omuwuwuttanyi wa ManU.

OMUTENDESI wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer afunye ku buweerero olwa bassita be ababadde abalwadde abamu okussuuka.

ManU yawangudde Crystal Palace ggoolo 3-1 mu wiiki wakati kyokka abazannyi baayo okuli; Juan Mata, Jesse Lingard, Marcus Rashford, Nemanja Matic n'abalala bonna baabadde balwadde.

Wabula nga beetegekera okuttunka ne Southampton mu gwa Premier enkya ku Lwomukaaga, Rashford, Mata ne Lingard basuubirwa okukomawo.

arcus ashford ku kkono ne ata nabo ababadde abalwaddeMarcus Rashford (ku kkono) ne Mata nabo ababadde abalwadde.

 

Bonsatule baateereddwa ku kujjanjabwa okwenjawulo okuva ku Lwokuna era abasawo ba ManU balina essuubi nti baakuzannya ogwa Southampton.

Eggulo baatendekeddwa ne bannaabwe kyokka ng'abakugu bongera okubeekebejja.

ManU eri mu kyokutaano ku bubonero 53, eri ku muyiggwa gwa kumalira mu bana abasooka kigisobozese okukiika mu Champions League.

Solskjaer agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka bawangule emipiira gyabwe bamalire mu bana abasooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....