TOP

Mourinho ayogedde ekyabatabula ne Pogba

Added 4th March 2019

Mourinho yaggyako Pogba obumyuka bwakapiteeni ekyayongera okutabula enkolagana yaabwe.

 Mourinho (ku kkono) bwe yali ayogera ne Pogba sizoni ewedde.

Mourinho (ku kkono) bwe yali ayogera ne Pogba sizoni ewedde.

EYALI omutendesi wa ManU, Jose Mourinho ayogedde ekyabatabula n'omuwuwuttanyi Paul Pogba mu kaseera we yabeerera mu ttiimu eyo.

Mourinho, eyagobwa mu December w'omwaka oguwedde, agamba nti Pogba yali asusse okwerowoozaako yekka ng'omuzannyi sso nga ye Mourinho si kye yali ayagala.

"Ng'omutendesi, toyagala muzannyi yeerowoozaako yekka kuba kissa ttiimu mu kaseera akazibu. Weetaaga abazannyi nga bali wamu era nga buli kimu bakikolera wamu," Mourinho bwe yategeezezza omukutu gwa ttivvi ogwa beIN.

Mourinho, yagenda okugobwa ng'enkolagana ye ne Pogba mbi era nga n'obumyuka bwakapiteeni abumuggyeeko.

Okuva Mourinho lwe yagenda, ManU yezzizza buggya mu kisanja kya Ole Gunnar Solskjear nga mu kiseera kino eri mu kyakuna ku bubonero 58.

Ku wiikendi, ManU yavudde mabega okuwangula Southampton ggoolo 3-2 era okuva Solskjaer lwe yajja, tebannakubwamu mu Premier ne mu FA Cup.

Ku Lwokusatu, baakudding'ana ne PSG eya Bufalansa mu Champions League oluzannya lwa ttiimu 16.

Omupiira guno ManU erina okuguwangula ne ggoolo 3-0 bw'eba yaakwesogga ‘quarter'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Okulonda e Kawempe kutambud...

ENKUBA yatataganyizza okulonda e Kawempe ekyawalirizza okusengula ebikozesebwa okulonda okubiteeka mu bifo ebirala...

Mulyannyama n'abawagizi be ng'ava okulonda.

Obuwanguzi bundi mu ttaano ...

Mmeeya wa Makindye, Al Hajji Ali Kasirye Nganda Mulyannyama amaze okweronda ku kifo ky'obwa mmeeya. Mulyannyama...

Arsenal yeeyazise Martin Od...

Ng’abawagizi ba Arsenal bakyebuuza oba Dani Ceballos abagasseeko bukya bamufuna mu Real Madrid ku looni, omutendesi...

Abazannyi bana bafiiridde m...

BANNABYAMIZANNYO b’omu Brazil bali mu ntiisa olw’abazannyi 4 ne pulezidenti wa ttiimu abatokomokedde mu kabenje...

Lampard

Lampard bamufuumudde ku gw'...

Omugagga wa Chelsea, Roman Abramovich afuumudde Frank Lampard ku butendesi n’amusikiza Thomas Tuchel eyagobwa mu...