
Abasambi nga basanyukira kimeeme w'embuzi
Mupiira:
St. Janan Luwum (11) 0-0 (10) St. Marios S.S
God Cares 1-0 Light A
Kubaka:
Mbalala S.S 12-11 St. Marios S.S
ABAYIZI ba Mbalala S.S baabinuse masejere oluvannyuma lw'okuwangula kimeeme w'embuzi eyabawereddwa nga bakubye St. Marios S.S Kinaawa mu mpaka z'okubaka ez'abadde ew'olunaku olumu.
Empaka zino zaabadde ku kisaawe kya ‘Meesi' e Makindye nga zetabiddwamu amasomero 15 okuva mu bitundu eby'enjawulo nga ziyitibwa ‘Support Uganda Talent'.
Akulira omuzannyo gw'okubaka mu Mbalala S.S Simon Mambi agamba, ‘tubadde tetusuubira kusitukira mu mbuzi eno kuba fayinolo ebadde yambiranye nga St. Marios obwedda yesooka okutukulembera nga tugiva mabega okutuusa bwetugiwangudde 12-11.'
Mipiira gw'abalenzi mwetabiddwamu amasomero 10, naye nga ‘quarter' biri zezazannyiddwa endala nezisula olw'obudde okuwungeera ng'emipiira tegikyasobola kugenda mu maaso olw'enzikiza eyabadde ekute kuba ogwa God Cares B ne Kazo gwasuze ssaako Light B ne Equator.
Wabula St. Janan yasobodde okwesogga oluzannya lwa ‘semi' ng'ekubye St. Marios 11-10 mu peneti nga basoose kulemagana 0-0 mu 90, neyeegatibwako God Cares eyawangudde Light A 1-0.